Titus 1:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kye yajulira kino kya mazima; awo nno bakangavvule babe balamu mu kukkiriza,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kye yagamba kya mazima. Noolwekyo oteekwa okubanenya n’amaanyi kiryoke kibaleetere okukkiriza okutuufu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okutegeeza okwo kwa mazima. Kyova oteekwa okubanenya n'amaanyi, balyoke babeere mu kukkiriza okutuufu,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kye yagamba kya mazima. N'olwekyo, oteekwa okubanenyanga n'amaanyi, balyoke babe n'okukkiriza okutuufu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okutegeeza okwo kwa mazima. Kyova obaboggoleranga n'obukambwe, balyoke babeere n'obulamu olw'okukkiriza