Titus 1:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku balongoofu byonna biba birongoofu, naye ku abo aboonoonefu, abatakkiriza, teri kitukuvu, anti nga n'emitima gyabwe n'emmeeme zaabwe byayonooneka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eri abalongoofu, ebintu byonna biba birongoofu, naye eri abo abatali balongoofu n’abatakkiriza, tewaba kirongoofu na kimu. Kubanga amagezi gaabwe n’ebirowoozo byabwe byayonooneka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eri abalongoofu byonna birongoofu, naye eri abagwagwa n'abatakkiriza tewali kirongoofu; naye amagezi gaabwe era n'omwoyo byasiigibwa obugwagwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eri abalongoofu, ebintu byonna biba birongoofu. Naye eri abo abatali balongoofu n'abatakkiriza, tewaba kirongoofu, kubanga amagezi gaabwe n'ebirowoozo byabwe byayonooneka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eri abalongoofu byonna birongoofu: naye abasiigibwa obugwagwa n'abatakkiriza eri abo tewali kirongoofu; naye amagezi gaabwe era n'omwoyo byasiigibwa obugwagwa.