Titus 1:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ate akadde bwe kaatuuka, n'amanyisa ekigambo kye nga kirangirirwa, omulimu gwennyini ogwankwasibwa mu kiragiro ekyava ewa Katonda Mulokozi waffe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye mu ntuuko zaabyo, yayolesa ekigambo kye mu kubuulira Enjiri, kwe nateresebwa ng’ekiragiro kya Katonda Omulokozi waffe bwe kiri,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye mu ntuuko zaabyo yayolesa ekigambo kye mu kubuulira kwe nnateresebwa nze ng'ekiragiro kya Katonda Omulokozi waffe bwe kiri;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiseera bwe kyatuuka, obulamu obwo n'abulagira mu bigambo, bye yankwasa mbitegeeze abantu, nga Katonda Omulokozi waffe bwe yalagira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye mu ntuuko ze yalabisa ekigambo kye mu kubuulira kwe nnateresebwa nze ng'ekiragiro kya Katonda Omulokozi waffe bwe kiri;