Titus 1:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ya Tito, mutabani wange olw'okukkiriza okutugatta awamu; eneema, okusaasira, n'emirembe okuva ewa Katonda Taata n'Omukama Kristu Yezu Mulokozi waffe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
eri Tito omwana wange ddala ng’okukkiriza kwaffe ffenna okwa awamu bwe kuli, n’ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Kristo Yesu omulokozi waffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
eri Tito, omwana wange ggeregere ng'okukkiriza kwaffe fenna bwe kuli; ekisa n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Kristo Yesu Omulokozi waffe bibeerenga gy'oli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nkuwandiikira ggwe Tito omwana wange ddala, mu kukkiriza kwaffe ffenna. Katonda Kitaffe ne Yesu Kristo Mukama waffe bakukwatirwe ekisa, era bakuwe emirembe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
eri Tito, omwana wange ggeregere ng'okukkiriza kwaffe fenna bwe kuli: ekisa n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Kristo Yesu Omulokozi waffe bibeerenga gy'oli.