Titus 1:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eno ye nsonga eyakundesa mu Kureti nti otereeze ebyali bisigalidde, olondere abakadde mu buli kibuga, nga bwe nali nkulagidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyennava nkuleka mu Kuleete, olyoke otereeze ebyo ebyetaaga okutereeza, era otekewo n’abakadde b’ekkanisa mu buli kibuga, nga bwe nakulagira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyennava nkuleka mu Kuleete, olyoke olongoosenga ebyasigalira, era oteekenga abakadde mu buli kibuga, nga nze bwe nnakulagira;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nakuleka mu Kureete, olyoke otereeze ebyo ebyetaaga okutereezebwa, era oteekewo abakulembeze b'ebibiina by'abakkiriza Kristo, mu buli kibuga, nga bwe nakulagira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyennava nkuleka mu Kuleete, olyoke olongoosenga ebyasigalira, era oteekenga abakadde mu buli kibuga nga nze bwe nnakulagira;