Titus 1:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
anywerera ddala ku kigambo eky'amazima nga bwe kyayigirizibwa, alyoke asobole okugumya abalala n'enjigiriza ennamu n'okukkirizisa abo abagiwakanya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ateekwa okuba omuntu anywerera ku kigambo ekyesigwa, alyoke asobole okunnyonnyola abantu enjigiriza entuufu, n’okulaga obukyamu bw’abo abagiwakanya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
anyweza ekigambo ekyesigwa ekiri ng'okuyigiriza kwaffe bwe kuli, alyoke ayinzenga okunyonnyola abantu enjigiriza entuufu, era n'okulaga obukyamu bwabo abagiwakanya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ateekwa okuba omuntu anywerera ku bigambo eby'amazima, nga bwe yabiyigirizibwa, alyoke asobole okunnyonnyola abantu enjigiriza entuufu, era n'okulaga obukyamu bw'abo abagiwakanya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
anyweza ekigambo ekyesigwa ekiri ng'okuyigiriza kwaffe bwe kuli, alyoke ayinzenga okubuulirira mu kuyigiriza okw'obulamu, era n'okusinga abayomba naye.