Titus 2:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
abateetoolatoola, wabula balage obwesigwa obulungi obwa namaddala, balyoke mu buli ngeri baweese enjigiriza ya Katonda Mulokozi waffe ekifaananyi ekirungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
wadde okubabbangako ebyabwe. Wabula babenga beesigwa ddala mu byonna, nga beeyisa bulungi, abantu balyoke bayaayaanire okuyigiriza kwa Katonda Omulokozi waffe mu buli ngeri yonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nga tebabba, naye nga beesigwa ddala mu byonna; balyoke bayonjenga okuyigiriza kw'Omulokozi waffe Katonda mu byonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
wadde okubabbako ebyabwe. Naye balagenga obwesigwa obw'amazima mu byonna, abantu balyoke basiime enjigiriza ya Katonda Omulokozi waffe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
obutabbanga, naye okulaganga obwesigwa obulungi bwonna; balyoke bayonjenga okuyigiriza kw'Omulokozi waffe Katonda mu byonna.