Titus 2:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Etuyigiriza okwegaana buli kikaafiiri n'amaddu g'ensi, tubeere abamanyi okwefuga, ab'empisa, abatuukirivu era abasomi mu nsi eno,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era kituyigiriza tuleke obutatya Katonda, n’okwegomba kw’ensi, tulyoke tube beegendereza, abatuukirivu abatya Katonda nga tuli mu mulembe gwa kaakano;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nga kitubuulirira okugaananga obutatya Katonda n'okwegomba okw'omu nsi, tulyoke tubeerenga abateefu, abatuukirivu, era abatya Katonda mu nsi eno,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era kituyigiriza okulekayo obutassaamu Katonda kitiibwa, n'okulekayo okwegomba kw'ensi, tulyoke tube bateefu, abeesimbu, era abassaamu Katonda ekitiibwa nga tuli ku nsi kuno,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga kitubuulirira okugaananga obutatya Katonda n'okwegomba okw'omu nsi, tulyoke tubeerenga abalamu mu mirembe egya kaakano mu kwegendereza n'obutuukirivu n'okutya Katonda,