Titus 2:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era bw'otyo ne ku bakazi abakulu, babe ba kitiibwa mu neeyisa yaabwe, abatasala bigambo, nga si bafugwa mwenge, wabula abayigiriza ekirungi;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakazi abakulu nabo bakubirize bw’otyo babe n’empisa ezisaanira abantu ba Katonda, nga tebawaayiriza, era nga tebatamiira, wabula nga bayigiriza ebirungi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abakazi abakulu nabo bakubirizenga babeerenga n'empisa ezisaanira mu bantu, nga tebawaayiriza, era nga si batamiivu, naye abayigiriza ebirungi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakazi abakulu nabo bakubirizenga bw'otyo, babenga n'empisa ezisaanira abantu ba Katonda, nga tebawaayiriza, era nga tebatamiira. Bateekwa okuyigirizanga ebirungi,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'abakazi abakadde bwe batyo mu kifaananyi kyabwe nga beewombeeka, si abawaayiriza, so si abafugibwa omwenge omungi, abayigiriza ebirungi;