Titus 2:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ow'ebigambo ebiramu ebitasobola kuvunaanibwa; olwo abo abakuwakanya baswale olw'obutaba na kibi kye bayinza kutwogerako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli ky’oyogera kiteekwa okuba nga tekiriiko kya kunenyezebwa, oyo awakanya alyoke aswale, nga talina kibi kya kukwogerako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nga buli ky'oyogera tekiriiko kya kunenyezebwa, oyo atali ku lulwo alyoke akwatibwenga ensonyi, nga talina kibi kya kutwogerako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli ky'oyogera kiteekwa okuba ekituufu, era nga tekiriiko kye kinenyezebwamu, oyo akiwakanya alyoke aswale, olw'obutaba na kibi ky'atwogerako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ebigambo eby'obulamu ebitanenyezeka; oyo atali ku lulwo alyoke akwatibwenga ensonyi, nga talina kibi kya kutwogerako.