Titus 3:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bajjukize okugondera abaami n'abali mu buyinza, okuba abawulize, abeetegefu okukola buli kirungi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebintu ebyo bijjukizenga abafuzi n’ab’obuyinza, babiwulirenga, era babigonderenga, era babenga beetegefu okukola buli mulimu omulungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obajjukizenga okugonderanga abafuga n'abalina obuyinza, okuwuliranga, okubeera abeetegefu okukola omulimu omulungi,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jjukizanga abantu bo beegenderezenga abafuzi n'ab'obuyinza, babawulirenga, era babenga beetegefu okukola buli mulimu omulungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obajjukizenga okugonderanga abafuga n'abalina obuyinza, okuwuliranga, okweteekerateekeranga buli kikolwa kyonna ekirungi,