Titus 3:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuntu aleeta enjawukana ng'omaze okumulabula ogusooka n'ogwokubiri, mulekere ddala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu ayawulayawula mu bantu bw’omalanga okumulabula omulundi ogusooka, era n’ogwokubiri, omwewalanga,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu omukyamu, bw'omalanga okumubuulirira omulundi ogwolubereberye n'ogwokubiri, omwewalanga,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oyo aleetera abantu obutassa kimu, bw'omalanga okumulabula omulundi ogusooka era n'ogwokubiri, ng'omuleka,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu omukyamu, bw'omalanga okumubuulirira omulundi ogw'olubereberye n'ogw'okubiri, omugaananga,