Titus 3:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Manya nti ow'engeri eyo mukyamu era mwonoonyi, yeesalidde yekka omusango.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kubanga omuntu ng’oyo aba amaze okukyamizibwa mu kibi, era nga yeesalira yekka omusango.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ng'omanya ng'ali ng'oyo amaze okukyamizibwa era mwonoonyi; nga yeesalira yekka omusango.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga omanyi nti omuntu ng'oyo aba mukyamu, era mwonoonyi, era aba yeesalidde yekka omusango okumusinga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ng'omanya ng'ali ng'oyo akyamizibwa, era ayonoona, nga yeesalira yekka omusango.