Titus 3:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu baffe balina okuyiga okukola emirimo emirungi, basobole okudduukirira mu bwetaavu obwa mangu, baleme kubeera ntagasa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era kubiriza abantu baffe bayige okukolanga emirimu omuva ebyetaagibwa, balemenga kubeera awo nga tebaliiko kye bagasa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era fubisa abantu baffe bayige okussangako omwoyo ku bikolwa ebirungi mu bigambo ebyetaagibwa, baleme okuba nga tebaabala bibala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era kubiriza abantu baffe bayige okukolanga emirimu omuva ebyetaagibwa, balemenga kubeera awo nga tebaliiko kye bagasa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era abaffe bayige okussangako omwoyo ku bikolwa ebirungi mu bigambo ebyetaagibwa, balemenga obutabala.