Titus 3:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bonna be ndi nabo eno bakutumidde. Ndabira abo abatwagala mu kukkiriza. Eneema ebeere nammwe mwenna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bonna abali nange bakulamusizza. Olamuse abo bonna abatwagala mu kukkiriza. Ekisa kibeerenga nammwe mwenna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abali nange bonna bakulamusizza. Olamuse abatwagala mu kukkiriza. Ekisa kibeerenga nammwe mwenna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bonna abali nange bakulamusizza. Lamusa abatwagala, bwe tulina okukkiriza okumu. Katonda akukwatirwenga ekisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abali nange bonna bakulamusizza. Olamuse abatwagala mu kukkiriza. Ekisa kibeerenga nammwe mwenna.