Titus 3:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nga tebawaayiriza, tebayombayomba, bateefu, ab'eggonjebwa eri buli muntu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bakuutire baleme kwogerebwako bubi, era beewalenga okuyomba, babenga bakkakkamu era babeerenga bawombeefu eri abantu bonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nga teboogera bubi ku muntu yenna, nga beewala okuyomba, abawombeefu, era nga bassaamu ekitiibwa abantu bonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakuutire balemenga kwogera bubi ku muntu n'omu, era beewalenga okuyomba; babenga bakkakkamu, era bassengamu abantu bonna ekitiibwa,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
obutavumanga muntu yenna, obutalwananga, okwewombeekanga, nga balaga obukkakkamu bwonna eri abantu bonna.