Titus 3:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'atulokola, si lwa kubeera bikolwa byaffe bye twali tukoze eby'obutuukirivu, naye lwa kubeera kisa kye, ng'ayita mu kunaazibwa okw'okuzaalibwa ogwokubiri n'okuzzibwa obuggya mu Mwoyo Mutuukirivu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’atulokola, si lwa bikolwa eby’omu butuukirivu bye twakola, wabula olw’okusaasira kwe mu kunaazibwa okw’okuzaalibwa okw’omulundi ogwokubiri n’okufuulibwa abaggya olwa Mwoyo Mutukuvu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'atulokola, si lwa bikolwa bye twakola mu butuukirivu, wabula olw'okusaasira kwe, olw'okunaazibwa okw'okuzaalibwa omulundi ogwokubiri n'okufuulibwa abaggya Omwoyo Omutukuvu,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'atulokola, si lwa bikolwa byaffe ebirungi bye twakola, wabula lwa kusaasira kwe. Yatulokola ng'atunaaza, ne tuzaalibwa omulundi ogwokubiri, ne tufuuka abaggya olwa Mwoyo Mutuukirivu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'atulokola, si lwa bikolwa eby'omu butuukirivu bye twakola ffe wabula olw'okusaasira kwe, olw'okunaazibwa okw'okuzaalibwa omulundi ogw'okubiri n'okufuulibwa abaggya Omwoyo Omutukuvu,