Titus 3:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekyogerwa kino kya mazima. Njagala bino obikkaatirize, abo abakkirizza Katonda bafeeyo ku kukola ebikolwa ebirungi; ebintu ebyo birungi era biyamba abantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekigambo ekyo kyesigwa, era nkukuutira ebyo obinywezenga abakkiriza Katonda bajjukirenga okukola ebikolwa ebirungi; ebintu ebyo birungi era bigasa abantu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekigambo kino kyesigwa, ne ku bino njagala ggwe okukakasizanga ddala, abakkiriza Katonda bajjukirenga okussaako omwoyo ku bikolwa ebirungi. Ebyo birungi, era bigasa abantu:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekyo kya mazima. Era ebyo njagala obikakasizenga ddala, abakkiriza Katonda balyoke beemalirenga ku kukola ebikolwa ebirungi. Ebyo birungi era bigasa abantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekigambo kino kyesigwa, ne ku bino njagala ggwe okukakasizanga ddala, abakkiriza Katonda bajjukirenga okussaako omwoyo ku bikolwa ebirungi. Ebyo birungi, era bigasa abantu: