Titus 3:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye weewale endasano ez'ekisiru, n'okunonooza endyo, okuyomba n'okukaayana ku Tteeka, kubanga bino tebiganyula era temuli kantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye weewalenga empaka ez’obusirusiru, n’okukaayana ku nkalala eziraga obuzaale bw’abantu, n’ennyombo, n’entalo ebikwata ku mateeka; kubanga tebiriiko kye bigasa era tebiriimu nsa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye weewalenga empaka ez'obusirusiru, enkalala ez'endyo, ennyombo n'okuwakanira amateeka, kubanga tebiriiko kye bigasa so tebiriimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye weewalenga empaka ez'obusiru, n'okukaayana ku nkalala z'amannya g'abajjajja b'abantu. Era weewalenga okuwakanira ebikwata ku Mateeka. Kubanga ebyo tebiriiko kye bigasa, era bya bwereere.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye empaka ez'obusiru n'ebitabo ebirimu endyo z'okuzaalibwa n'ennyombo n'okuwakanira amateeka obyewalenga; kubanga tebiriiko kye bigasa so tebiriimu.