Zechariah 1:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne baanukula malayika w'Omukama eyali ayimiridde mu miti gya jjambula, ne bamugamba nti: ‘Tuyiseeyise mu nsi, ensi yonna etebenkedde, eri mu ddembe.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ziddamu malayika wa Mukama eyali ayimiridde mu miti nti, “Tubunye ensi yonna, era laba ensi yonna esiriikiridde teriimu kanyego eteredde mirembe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne biddamu malayika wa Mukama eyali ayimiridde wakati w'emikadasi ne byogera nti, ‘Tutambuddetambudde ku nsi, era laba, ensi yonna eteredde ewummudde.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne zigamba malayika oyo eyali ayimiridde wakati mu miti emikadasi nti: “Tulambudde ensi yonna, ne tusanga ng'etebenkedde mirembe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne biddamu malayika wa Mukama eyali ayimiridde wakati w'emikadasi ne byogera nti Tutambuddetambudde ku nsi, era laba, ensi yonna eteredde ewummudde.