Zechariah 1:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Malayika w'Omukama n'ayanukula nti: ‘Ayi Mukama w'Amagye, onootuusa wa obutasaasira Yeruzaalemu n'ebibuga bya Yuda, bye wasunguwalira kati gino emyaka nsanvu?’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo malayika wa Mukama n’agamba nti, “Ayi Mukama ow’Eggye, olituusa ddi obutakwatirwa Yerusaalemi n’ebibuga bya Yuda kisa, by’osunguwalidde okumala emyaka ensanvu?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Malayika wa Mukama n'addamu n'ayogera nti, ‘Ayi Mukama w'eggye, olituusa wa obutasaasira Yerusaalemi n'ebibuga bya Yuda, bye waakanyiikaalirira emyaka ensanvu (70)?’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo malayika wa Mukama n'agamba nti: “Ayi Mukama Nnannyinimagye, osunguwalidde Yerusaalemu n'ebibuga bya Buyudaaya okumala emyaka nsanvu. Olimala bbanga ki nga tonnabikwatirwa kisa?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Malayika wa Mukama n'addamu n'ayogera nti Ai Mukama w'eggye, olituusa wa obutasaasira Yerusaalemi n'ebibuga bya Yuda, bye waakanyiikaalirira emyaka ensanvu?