Zechariah 1:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Malayika eyali ayogera nange n'aŋŋamba nti ‘Langirira nti: “Omukama w'Amagye kino ky'agamba: Yeruzaalemu ne Siyoni bankwasa nnyo ensaalwa,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo malayika eyali ayogera nange n’agamba nti, “Langirira ogambe nti, Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, ‘Yerusaalemi ne Sayuuni mbikwatiririddwa obuggya obw’amaanyi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Malayika eyali ayogerera nange n'aŋŋamba nti, ‘Yogerera waggulu ng'ogamba nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye; nkwatiddwa Yerusaalemi ne Sayuuni obuggya, obuggya obungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Malayika oyo n'aŋŋamba nnangirire ebyo Mukama Nnannyinimagye bye yayogera nti “Nnumirwa nnyo Yerusaalemu ne Siyooni,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Malayika eyali ayogera nange n'aŋŋamba nti Yogerera waggulu ng'ogamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye; nkwatiddwa Yerusaalemi ne Sayuuni obuggya, obuggya obungi.