Zechariah 1:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘N'olw'ekyo Omukama w'Amagye kino ky'agamba: Nzija kudda eri Yeruzaalemu mmusaasire, n'eyo Ekiggwa kyange gye kinaazimbibwa, Omukama w'Amagye y'agamba, n'olukoba olupima lulikubibwa ku Yeruzaalemu.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Nkomyewo mu Yerusaalemi n’ekisa. Ennyumba yange ne Yerusaalemi kyonna, bijja kuzimbibwa,’ bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama kyava ayogera bw'ati nti, ‘Nkomyewo e Yerusaalemi n'ekisa; ennyumba yange erizimbibwa omwo, bw'ayogera Mukama w'eggye, n'omugwa gulireegebwa ku Yerusaalemi.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyenvudde nkomawo mu Yerusaalemu, okukikwatirwa ekisa. Essinzizo lyange lijja kuzimbibwa buggya mu kyo, era nakyo kizimbibwe buggya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama kyava ayogera bw'ati nti Nkomyewo e Yerusaalemi n'ekisa; ennyumba yange erizimbibwa omwo, bw'ayogera Mukama w'eggye, n'omugwa gulireegebwa ku Yerusaalemi.