Zechariah 1:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era langirira nti: ‘Omukama w'Amagye kino ky'agamba: Ebibuga binaddamu ne bibooga ebirungi, n'Omukama ajja kukubagiza Siyoni, alonde Yeruzaalemu.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Yogera n’eddoboozi ery’omwanguka nti, Mukama Katonda ow’Eggye alangiridde nti, ‘Ebibuga byange bijja kuddamu okukulukuta obugagga, era Mukama alizzaamu Sayuuni amaanyi, ne yeeroboza Yerusaalemi.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yogerera waggulu nate ng'ogamba nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Oliboolyawo ebibuga byange ne byanjaala olw'okulaba ebirungi; oliboolyawo Mukama n'asanyusa Sayuuni, oliboolyawo ne yeeroboza Yerusaalemi.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Malayika era n'aŋŋamba okulangirira nti: “Mukama Nnannyinimagye agamba nti ebibuga bye, biriddamu okuba obulungi, era nti aliddamu okuyamba Yerusaalemu, n'okukibala ng'ekibuga kye, kye yeeroboza.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yogerera waggulu nate ng'ogamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Oliboolyawo ebibuga byange ne byanjaala olw'okulaba ebirungi; oliboolyawo Mukama n'asanyusa Sayuuni, oliboolyawo ne yeeroboza Yerusaalemi.