Zechariah 1:19 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Malayika eyali ayogera nange ne mubuuza nti, “Amayembe ago gategeeza ki?” N’anziramu nti, “Gategeeza obuyinza obwasaasaanya abantu ab’omu Yuda, n’ab’omu Isirayiri, n’ab’omu Yerusaalemi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ŋŋamba malayika eyali ayogera nange nti, “ Ago maki?” N'anziramu nti, “Gano ge mayembe agaasaasaanya Yuda ne Isiraeri ne Yerusaalemi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Malayika eyali ayogera nange, ne mmubuuza nti: “Amayembe ago, gategeeza ki?” N'anziramu nti: “Gategeeza obuyinza obwasaasaanya abantu ab'omu Buyudaaya n'ab'omu Yisirayeli, n'ab'omu Yerusaalemu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ŋŋamba malayika eyali ayogera nange nti Ago maki? N'anziramu nti Gano ge mayembe agaasaasaanya Yuda ne Isiraeri ne Yerusaalemi.