Zechariah 1:21 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne mbuuza nti, “Abo bazze kukola ki?” N’addamu nti, “Ago amayembe, bwe buyinza obwasaasaanya Yuda nga tewali na muntu ayimusa mutwe gwe; naye abaweesi abana bazze okubatiisa era n’okubazikiriza, ago amawanga agaasitukira ku nsi ya Yuda okusaasaanya abantu baamu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne njogera nti, “ Abo bajja kukola ki?” N'ayogera nti, “Gano ge mayembe agaasaasaanya Yuda omuntu n'okuyimusa n'atayimusa mutwe gwe; naye bano bazze okugasaggula, okusuula amayembe g'amawanga agaayimusizanga ejjembe lyabwe ku nsi ya Yuda okugisaasaanya.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne mbuuza nti: “Abo bazze kukola ki?” N'addamu nti: “Bazze okutiisa amawanga agaalinnyirira Buyudaaya, ne gasaasaanya abantu baamu, era bazze okusaanyaawo obuyinza bwago.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne njogera nti Abo bajja kukola ki? N'ayogera nti Gano ge mayembe agaasaasaanya Yuda omuntu n'okuyimusa n'atayimusa mutwe gwe; naye bano bazze okugasaggula, okusuula amayembe g'amawanga agaayimusizanga ejjembe lyabwe ku nsi ya Yuda okugisaasaanya.