Zechariah 1:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muleme kubeera nga bajjajjammwe, abalanzi abaakulembera be baagambanga nti: “Omukama w'Amagye kino ky'agamba: Muve ku bibi byammwe n'ebirowoozo byammwe ebibi,” naye bo ne batawulira, ne batategereza, Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Temuba nga bajjajjammwe, bannabbi ab’edda be baakoowoolanga nti, ‘Muve mu makubo gammwe amabi, n’ebikolwa byammwe ebikyamu.’ Naye tebampuliriza wadde okuŋŋondera, bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temuba nga bajjajjammwe bannabbi ab'edda be baakoowoolanga nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, ‘Kale muve mu makubo gammwe amabi ne mu bikolwa byammwe ebibi,’ naye ne batampulira era ne batampuliriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muleme okuba nga bajjajjammwe. Abalanzi ab'edda baabatuusangako obubaka bwange, nga babagamba nti: Mukama Nnannyinimagye abagamba nti muve mu mpisa zammwe embi, era mulekere awo okukola ebikolwa ebibi. Naye bo ne batawuliriza bye mbagamba, wadde okukola bye mbalagira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muleme okuba nga bajjajjammwe bannabbi ab'edda be baagambiranga waggulu nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Kale muve mu makubo gammwe amabi ne mu bikolwa byammwe ebibi; so tebaawulira so tebampuliriza, bw'ayogera Mukama.