Zechariah 1:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ddala ddala ebigambo byange n'amateeka gange bye nalagira abaweereza bange abalanzi tebyatuukirira ku bajjajjammwe? Beenenya ne bagamba nti: “Omukama w'Amagye atukoze nga bwe yateesa okutukola nga bwe kyali kitugwanidde ng'agerera ku makubo gaffe n'endowooza yaffe.” ’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebigambo byange n’ebiragiro bye nalagira abaddu bange, bannabbi, eri bajjajjammwe tebyatuukirira? “Ne balyoka beenenya ne bagamba nti, ‘ Mukama ow’Eggye bye yasuubiza okutukola olw’empisa zaffe embi n’ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu, bw’atyo bw’atukoledde ddala.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ebigambo byange n'amateeka gange, bye nnalagira abaddu bange, bannabbi, tebyabasanga bajjajjammwe? Ne bakyuka ne boogera nti Nga Mukama w'eggye bwe yalowooza okutukola ffe, ng'amakubo gaffe bwe gali n'ebikolwa byaffe nga bwe biri, bw'atyo bwe yatukola.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye okulabula n'okukuutira bye nayisa mu baweereza bange abalanzi, tebyatuukirira ku bajjajjammwe? Olwo ne beenenya ne bagamba nti: ‘Mukama Nnannyinimagye atubonerezza nga bwe tusaanidde, era nga bwe yamalirira okutubonereza.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ebigambo byange n'amateeka gange, bye nnalagira abaddu bange, bannabbi, tebyabasanga bajjajjammwe? ne bakyuka ne boogera nti Nga Mukama w'eggye bwe yalowooza okutukola ffe, ng'amakubo gaffe bwe gali n'ebikolwa byaffe nga bwe biri, bw'atyo bwe yatukola.