Zechariah 1:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lunaku olw'amakumi abiri mu ennya olw'omwezi ogw'ekkumi n'ogumu, nga gwe mwezi ogwa Sebati, mu mwaka ogwokubiri ogwa Dariyo, ekigambo ky'Omukama ne kijjira Zakariya mutabani wa Berekiya, mutabani wa Yiddo, nga kigamba nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olw’amakumi abiri mu ennya, mu mwezi ogw’ekkumi n’ogumu gwe bayita Sebati, mu mwaka ogwokubiri ogw’obufuzi bwa kabaka Daliyo, ekigambo kya Mukama ne kijjira Zekkaliya mutabani wa Berekiya, omwana wa Iddo nnabbi nga kigamba nti.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olunaku olw'abiri mu nnya, olw'omwezi ogw'ekkumi n'ogumu, gwe mwezi Sebati, mu mwaka ogwokubiri ogwo bufuzi bwa Daliyo, ekigambo kya Mukama kyajja eri Zekkaliya, omwana wa Berekiya, omwana wa Iddo, nnabbi, nga kyogera nti,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olw'amakumi abiri mu ennya, olw'omwezi ogw'ekkumi n'ogumu, gwe mwezi ogwa Sebati, mu mwaka ogwokubiri nga Dariyo ye kabaka, Mukama n'awa omulanzi Zekariya, mutabani wa Berekiya, era muzzukulu wa Yiddo, obubaka. Zekariya n'agamba nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olunaku olw'amakumi abiri mu nnya, olw'omwezi ogw'ekkumi n'ogumu, gwe mwezi Sebati, mu mwaka ogw'okubiri ogwa Daliyo, ekigambo kya Mukama kyajja eri Zekkaliya, omwana wa Berekiya, omwana wa Iddo, nnabbi, nga kyogera nti