Zechariah 1:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne mbuuza nti: ‘Mukama, bano baki?’ Malayika eyali ayogera nange n'aŋŋamba nti: ‘Nzija kukulaga kye bali.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne mbuuza nti, “Mukama wange bino bitegeeza ki?” Malayika eyali ayogera nange n’aŋŋamba nti, “Nzija kukulaga kye bitegeeza.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne njogera nti, ‘Ayi mukama wange, ebyo biki?’ Malayika eyali ayogera nange n'aŋŋamba nti, ‘Naakwolesa ebyo bwe biri.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne mmubuuza nti: ‘Mukama wange, embalaasi ezo, kiki kye zitegeeza?’ Malayika oyo n'aŋŋamba nti: ‘Nja kukulaga kye zitegeeza.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne njogera nti Ai mukama wange, ebyo biki? Malayika eyali ayogera nange n'aŋŋamba nti Naakwolesa ebyo bwe biri.