Zechariah 10:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musabe Omukama enkuba mu budde obwa Ttoggo; Omukama y'aleeta ebire ebya kibuyaga; awa abantu ebire by'enkuba, na buli omu n'amuwa ebimera mu nnimiro ye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musabe Mukama enkuba mu biseera byayo; kubanga Mukama y’akola ebire enkuba n’etonnya, olwo buli muntu n’afuna ebirime.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musabe Mukama enkuba mu biro ebya ddumbi, Mukama akola ebire, naye alibawa empandaggirize, buli muntu afune ebirime.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musabe Mukama enkuba mu biseera byayo mw'etonnyera. Mukama ye agaba ebire by'enkuba etonnya n'emereza bonna ebimera mu nnimiro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musabe Mukama enkuba mu biro ebya ddumbi, Mukama akola ebimyansa; naye alibawa empandaggirize, buli muntu omuddo mu ttale.