Zechariah 10:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baliyita mu nnyanja y'ennaku, amayengo g'ennyanja galikubwa, n'eddubi lya Kiyira lirifuulibwa kkalu; olwetumbu lwa Assuri lulikkakkanyizibwa, ne ddamula wa Misiri alivaawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baliyita mu nnyanja ey’okubonaabona; ennyanja ewuluguma erikkakkanyizibwa, n’obuziba bwa Kiyira bwonna bulikala. Amalala ga Bwasuli galibaggwaamu n’omugo ogw’obufuzi bwa Misiri gulimenyebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Baliyita mu nnyanja ey'okubonaabona, amayengo mu nnyanja, n'obuziba bwonna obwa Kiyira bulikalira; Amalala ga Bwasuli galikkakkanyizibwa, n'omuggo gwa kabaka w'e Misiri gulimuggibwako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bwe baliba bayita mu nnyanja ey'okubonaabona, nze Mukama ndikuba amayengo. N'obuziba bwonna obwa Kiyira bulikalira. Assiriya eyeekulumbaza eritoowazibwa. N'obuyinza bwa Misiri buliggwaawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye aliyita mu nnyanja ey'okubonaabona, alikuba amayengo mu nnyanja, n'obuziba bwonna obwa Kiyira bulikalira; n'ekyejo eky'Obwasuli kirikkakkanyizibwa, n'omuggo gwa kabaka w'e Misiri gulimuggibwako.