Zechariah 10:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndibagumya mu Mukama, balitambulira mu linnya lye,” Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndibafuula ba maanyi mu Mukama era nabo balitambulira mu linnya lyange,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nange ndibafuula b'amaanyi mu Mukama; nabo balifuna ekitiibwa mu linnya lye; bw'ayogera Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndiwa abantu bange amaanyi. Balinsinza era balimpulira.” Mukama ye ayogedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nange ndibassaamu amaanyi mu Mukama; nabo balitambulatambula mu linnya lye, bw'ayogera Mukama.