Zechariah 10:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bulubaale bwammwe obw'awaka bwogera bitaliimu, n'abalaguzi balabikirwa bya bulimba; ebirooto byabwe temuli kantu, okukubagiza kwabyo kuguya buguyaaguya. Abantu kyebava batangatanga ng'endiga, nga banyiikaavu kubanga tebalina musumba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga bakatonda abalala n’abalaguzi balaba okwolesebwa okw’obulimba; ne baloota ebirooto eby’obulimba, ne bagumya abantu eby’obulimba. Abantu kyebava bazuŋŋana ng’endiga, nga banyigirizibwa olw’obutaba na musumba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga amayembe googedde ebitaliimu n'abalaguzi balabye obulimba; ne boogera ebirooto eby'obulimba, ne basanyusiza bwereere; kyebaava bazuŋŋana ng'endiga, babonaabona kubanga tewali musumba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu beebuuza ku mayembe ne ku balaguzi, ne ku bavvuunuzi b'ebirooto, naye bye babaddamu bya bulimba, biwubisa, era tebiriimu mugaso. Abantu kyebava batangatanga ng'endiga ezibuze. Babonaabona olw'obutaba na mukulembeze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga amayembe googedde ebitaliimu n'abalaguzi balabye obulimba; ne boogera ebirooto eby'obulimba, ne basanyusiza bwereere; kyebava bazuŋŋana ng'endiga; babonaabona kubanga tewali musumba.