Zechariah 10:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Obusungu bwange bweseredde ku basumba, nzija kubonereza abakulembeze. Kubanga Omukama w'Amagye alabirira eggana lye, ennyumba ya Yuda; alibafuula ng'embalaasi ze ennwanyi ze yeewaaniramu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Obusungu bwange bubuubuukidde ku basumba era nzija kubonereza abakulembeze ba Yuda, kubanga Mukama ow’Eggye ajja kulabirira endiga ze, ennyumba ya Yuda, era alibafuula ng’embalaasi ye emwenyumiririzaamu ennyo mu lutalo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Obusungu bwange buyimuse ku basumba, era ndibonereza abakulembeze ba Yuda, kubanga Mukama w'eggye ajja kulabirira ekisibo kye, ye nnyumba ya Yuda, era alibafuula ng'embalaasi ye ennungi ku lutalo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Nsunguwalidde abakulembeze, abafuzi b'abantu bange, era nja kubabonereza. Abantu b'omu Buyudaaya bange, era Nze, Mukama Nnannyinimagye, nja kubalabirira. Nja kubafuula ng'embalaasi zange ez'omu lutalo ez'amaanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obusungu bwange buyimuse ku basumba, era ndibonereza embuzi ennume; kubanga Mukama w'eggye akyalidde ekisibo kye; ye nnyumba ya Yuda, era alibafuula ng'embalaasi ye ennungi ku lutalo.