Zechariah 10:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu ye mwe muliva ejjinja ery'entabiro, mwe muliva n'enkondo ya weema; mwe muliva omusaale gw'olutalo, mwe muliva buli mufuzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu Yuda mulivaamu ejjinja ery’oku nsonda, muveemu n’enkondo enyweza weema, muveemu n’omutego ogw’akasaale era muveemu na buli mufuzi yenna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu Yuda mulivaamu ejjinja ery'oku nsonda, muveemu n'enninga, muveemu n'omutego ogw'akasaale, muveemu na buli mufuzi yenna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu bo mulivaamu abafuzi n'abakulembeze n'abaduumizi b'eggye, abalifuga abantu bange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eri ye erivaayo ejjinja ery'oku nsonda, era eri ye enninga, era eri ye buli mukamuzi waamu.