Zechariah 10:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bonna wamu baliba ng'abatabaazi abazira, nga basambirira ebitoomi by'omu nguudo mu lutalo; balitabaala kubanga Omukama aliba nabo; baliswaza abeebagazi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bonna awamu balyoke babe ng’abasajja abazira ennyo mu lutalo abatambulira mu bitoomi by’omu nguudo mu biseera eby’entalo. Kubanga Mukama ali nabo, balirwana ne bawangula eggye eryebagadde embalaasi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nabo balibanga abasajja abazira mu lutalo, abalinnyirira abalabe baabwe mu bitoomi eby'omu nguudo; nabo balirwana kubanga Mukama ali wamu nabo, n'abo abeebagala embalaasi baliswala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu b'omu Buyudaaya baliba ng'abalwanyi abazira, abalinnyirira abalabe baabwe mu bitoomi eby'omu nguudo. Balirwana, kubanga Mukama ali wamu nabo, era baliwangula n'abalabe abeebagala embalaasi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nabo baliba ng'abazira abalinnyirira abalabe baabwe mu bitoomi eby'omu nguudo ku lutalo; nabo balirwana kubanga Mukama ali wamu nabo: n'abo abeebagala embalaasi baliswala.