Zechariah 10:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Nzija kugumya ennyumba ya Yuda, ndirokola ennyumba ya Yozefu; ŋŋenda kubakomyawo kubanga ndi wa kisa gye bali. Balibeera nga be sigobangako, anti nze Mukama Katonda waabwe, ŋŋenda kubaanukula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ndiwa ennyumba ya Yuda amaanyi era ndiwonya ennyumba ya Yusufu, ndibakomyawo kubanga mbakwatiddwa ekisa. Balibeera nga be sseegaanangako era ndibawulira kubanga nze Mukama Katonda waabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nange ndiwa amaanyi ennyumba ya Yuda, ndiwonya ennyumba ya Yusufu. nange ndibakomyawo kubanga mbasaasidde; nabo baliba nga bwe bandibadde singa saabagoba; kubanga nze Mukama Katonda waabwe, nange ndibawulira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ndiwa ab'omu Buyudaaya amaanyi, ndiwa ab'omu Yisirayeli obuwanguzi. Ndibakwatirwa ekisa, ne mbakomyawo ewaabwe. Baliba nga be sigobanga, kubanga nze Mukama Katonda waabwe, era ndiwulira bye basaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nange ndiwa amaanyi ennyumba ya Yusufu, nange ndibakomyawo kubanga mbasaasidde; nabo baliba nga bwe bandibadde singa saabagoba; kubanga nze Mukama Katonda waabwe, nange ndibawulira.