Zechariah 10:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ab'omu Efurayimu baliba ng'abatabaazi abazira, n'emitima gyabwe giricamuka ng'egy'abanywedde evviini. Abaana baabwe baliraba ne basanyuka; emitima gyabwe girijaguliza mu Mukama,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olwo aba Efulayimu baliba ng’abasajja ab’amaanyi, emitima gyabwe ne gisanyuka nnyo ng’abanywedde wayini. Abaana baabwe balikiraba ne basanyuka, omutima gwabwe gulisanyukira mu Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'aba Efulayimu balibeeranga omulwanyi omuzira, n'omutima gwabwe gulisanyuka ng'asanyukira omwenge. abaana baabwe balikiraba balisanyuka; omutima gwabwe gulisanyukira Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'omu Yisirayeli baliba ba maanyi ng'abalwanyi abazira. Balisanyuka ng'abanywedde omwenge. Bazzukulu baabwe banajjukiranga kino ne basanyuka olw'ebyo Mukama by'akoze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'aba Efulayimu balibeera ng'omuzira, n'omutima gwabwe gulisanyuka ng'asanyukira omwenge weewaawo, abaana baabwe balikiraba balisanyuka; omutima gwabwe gulisanyukira Mukama.