Zechariah 10:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nabasaasaanya mu mawanga, naye baliyima ewala eyo ne banzijukira, bo n'abaana baabwe balirama era balikomawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Newaakubadde nga nabasaasaanyiza mu mawanga, naye balisinzira eyo mu nsi ezeewala ne banzijukira. Bo n’abaana baabwe baliba balamu era ne bakomawo gye ndi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Newakubadde nga n'abasaasaanyiza mu mawanga, era balinjijukira nga bayima mu nsi ez'ewala; era baliba balamu n'abaana baabwe, era balikomawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Newaakubadde nabasaasaanya mu mawanga, naye balinzijukira nga bali mu nsi ez'ewala, era bo n'abaana baabwe baliba balamu era balikomawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nange ndibasiga mu mawanga, era balinjijukira nga bayima mu nsi ez'ewala; era baliba balamu n'abaana baabwe, era balikomawo.