Zechariah 11:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne mbagamba nti: “Oba mulaba nti kirungi, munsasule empeera yange, oba si ky'ekyo, mwerekere.” Ne bampimira empeera yange: ebitundu bya ffeeza amakumi asatu
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ndyoka mbagamba nti, “Bwe kiba nga kisaanidde mu maaso gammwe mumpe empeera yange; naye obanga temusiimye mulekeeyo.” Awo ne bambalira ensimbi eza ffeeza amakumi asatu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne mbagamba nti, “Oba kirungi mu maaso gammwe, mumpe empeera yange; naye oba si kirungi, mulekeeyo.” Awo ne bagera okuba empeera yange ebitundu asatu (30) eby'effeeza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne mbagamba nti: “Oba mwagala, mumpe empeera yange. Oba temwagala, mugisigaze.” Ne bansasula ebitundu amakumi asatu ebya ffeeza, nga ye mpeera yange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mbagamba nti Oba kirungi mu maaso gammwe, mumpe empeera yange; naye oba si kirungi, mulekeeyo. Awo ne bagera okuba empeera yange ebitundu asatu eby'effeeza.