Zechariah 11:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga ŋŋenda kussaawo omusumba mu nsi atalyefiirayo ku ndiga ezibuze oba okunoonya eziwabye, okuwonya ezifunye obuvune n'okuliisa ennamu, wabula alirya ennyama y'ensava, n'anuulako ebinuulo byazo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga laba, nze nyimusizza omusumba mu nsi atafaayo ku ndiga ezizikirira era atanoonya zisaasaanye, era atayunga zimenyese wadde okuliisa ennamu, naye alya ensolo ensava ng’aziyuzaako ebinuulo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga, laba, nze ndiyimusa omusumba mu nsi, atalizifaako ziri ezibuze, so talinoonya ziri ezisaasaanye, so taliwonya ziri ezimenyese, so taliriisa ziri eziyimirira, naye ennyama y'ezo eza ssava aligirya, era alimmenyamenya ebinuulo byazo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga nteekawo omusumba anaalundanga endiga, naye taalabirirenga ezo ezigenda okutuukibwako akabi, wadde okunoonya ezo ezibuze. Era tajjanjabenga ezo ezirwadde, wadde okuliisa ezo ennamu, wabula anaalyangamu ezo ezassava, era alizinuulako ebinuulo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga, laba, nze ndiyimusa omusumba mu nsi, atalizifaako ziri ezibuze, so talinoonya ziri ezisaasaanye, so taliwonya ziri ezimenyese, so taliriisa ziri eziyimirira, naye ennyama y'ezo eza ssava aligirya, era alityemulatyemula ebinuulo byazo.