Zechariah 11:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abo abazigula bazitta ne batazza musango, n'abazitunda beegambira nti: ‘Omukama agulumizibwe, ngaggawadde!’ N'abasumba baazo bennyini tebazisaasira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo abazigula bazitta ne batabaako musango. N’abo abazitunda ne bagamba nti, ‘ Mukama atenderezebwe ngaggawadde!’ Abasumba baazo bennyini tebazikwatirwa kisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
abo abazigula bazitta ne beeyita abatazzizza musango; n'abo abazitunda bagamba nti Atenderezebwe Mukama, kubanga ngaggawadde; so abasumba baazo zennyini tebazisaasira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abazigula, bazitta ne batabonerezebwa. Batunda ennyama, ne bagamba nti: ‘Mukama atenderezebwe, kubanga tugaggawadde.’ Abasumba baazo nabo bennyini tebazisaasira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bannyini zo be bazitta ne beeyita abatazzizza musango; n'abo abazitunda bagamba nti Atenderezebwe Mukama, kubanga ngaggawadde: so abasumba baazo zennyini tebazisaasira.