Zechariah 11:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nze sijja kuddamu kusaasira bantu ba mu nsi muno, Omukama y'agamba. Abantu nzija kubawaayo, buli omu mu mikono gya munne, ne mu gya kabaka we. Balinyigiriza ensi, naye sigenda kubawonyaawo mu mikono gya bali.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga sikyaddayo kukwatirwa bantu ba nsi eno kisa,” bw’ayogera Mukama. “Ndiwaayo buli muntu okugwa mu mikono gya muliraanwa we, ne mu mikono gya kabaka we. Nabo balijooga ensi era sirigiwonya kuva mu mikono gwabwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga sirisaasira nate abo ababeera mu nsi, bw'ayogera Mukama: naye, laba, ndiwaayo abantu buli muntu mu mukono gwa munne ne mu mukono gwa kabaka we; nabo balibonyaabonya ensi, so siribalokola mu mukono gwabwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Sirisaasira nate muntu n'omu ku nsi. Ndiwaayo abantu bonna mu buyinza bw'abafuzi baabwe. Abafuzi abo balibonyaabonya ensi, era siriginunula mu buyinza bwabwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga sirisaasira nate abo ababeera mu nsi, bw'ayogera Mukama: naye, laba, ndiwaayo abantu buli muntu mu mukono gwa munne ne mu mukono gwa kabaka we: nabo balibonyaabonya ensi, so siribalokola mu mukono gwabwe.