Zechariah 11:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe ntyo ne nnunda endiga ez'okutta ez'abasuubuzi ba kabaka. Ne nzirira emiggo ebiri, ogumu ne ngutuuma 'Kisa' n'omulala ne ngutuuma Mukago, ne nnunda endiga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne nunda ekisibo ekyateekebwateekebwa okuttibwa, okusingira ddala ezaali zijoogebwa. Ne ntwala emiggo gy’abasumba ebiri, ogumu ne ngutuuma erinnya Kisa, omulala ne ngutuuma Kwegatta era ne ndiisa endiga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne ndiisa ekisibo eky'okuttibwa, okusingira ddala ennafu ez'omu kisibo. Ne nneetwalira emiggo ebiri; ogumu ne ngutuuma nti Kisa; omulala ne ngutuuma, Kwegatta; ne ndiisa ekisibo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasuubuzi b'endiga banfuula omusumba, ne nnunda endiga ez'okuttibwa. Ne nkwata emiggo ebiri. Ogumu ne ngutuuma erinnya “Mukisa”. Omulala ne ngutuuma erinnya “Kwegatta”, ne nnunda endiga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne ndiisa ekisibo eky'okuttibwa, weewaawo, ennafu ez'omu kisibo. Ne nneetwalira emiggo ebiri; ogumu ne ngutuuma nti Ekisanyukirwa; omulala ne ngutuuma nti Ebisiba; ne ndiisa ekisibo.