Zechariah 11:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne ŋŋamba nti: “Sijja kubalunda mmwe; ez'okufa ka zife, n'ez'okuzikirira ka zizikirire, ate ezisigadde buli emu erye ennyama ya ginnaayo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne ndyoka ŋŋamba nti, “Siibeere musumba wammwe, ekinaafa leka kife, ekyokwonooneka kyonooneke, era leka ebyo ebisigaddewo biryaŋŋane, buli kimu kirye kinnaakyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne njogera nti, “Siibeere musumba wammwe, ekifa kife bufi; ekigenda okuggibwawo, kiggibwewo; ebisigalawo biryaŋŋane, buli kimu kirye kinnaakyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne ŋŋamba endiga nti: “Sikyabalunda. Ezo ezinaafa, zife. Ezinaazikirizibwa, zizikirizibwe. Ezo ezinaasigalawo ziryaŋŋane.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne njogera nti Siribaliisa; ekifa kife bufi; ekigenda okuggibwawo, kiggibwewo; ebisigalawo biryaŋŋane ekimu omubiri gwa kinnaakyo.