Zechariah 12:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obubaka: Ekigambo ky'Omukama ku Yisirayeli ne ku Yuda. Omukama abamba eggulu, abangawo ensi n'akola omwoyo gw'omuntu mu muntu, agamba nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kino ky’ekigambo kya Katonda ekikwata ku Isirayiri. Bw’ati bw’ayogera Mukama eyabamba eggulu era n’assaawo emisingi gy’ensi, era n’akola n’omwoyo gw’omuntu ogumulimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omugugu ogw'ekigambo kya Mukama ekikwata ku Isiraeri. Ayogera Mukama abamba eggulu, era assaawo emisingi gy'ensi, era abumba omwoyo gw'omuntu munda ye,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buno bwe bubaka obufa ku Yisirayeli, obuva eri Mukama, eyabamba eggulu, eyatonda ensi, era eyawa abantu obulamu. Agamba nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omugugu ogw'ekigambo kya Mukama oguli ku Isiraeri. Ayogera Mukama abamba eggulu, era assaawo emisingi gy'ensi, era abumba omwoyo gw'omuntu munda ye, nti