Zechariah 12:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ndiyiwa ku nnyumba ya Dawudi ne ku bantu b'e Yeruzaalemu omwoyo omusaasizi n'ogw'okwegayirira. Balitunula kw'oyo gwe baafumita; balimukaabira ng'akaabira omwana omuzaale omu; balyaziirana ku lulwe ng'abaaziiranira omwana omuggulanda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Era ndifuka ku nnyumba ya Dawudi era ku batuuze ba Yerusaalemi Omwoyo ow’ekisa n’okwegayirira. Balintunuulira nze gwe baafumita: era balimukungubagira ng’omuntu bw’akungubagira omwana we omu yekka, era balimulumirwa nnyo omwoyo ng’omuntu bw’alumirwa mutabani we omubereberye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndifuka ku nnyumba ya Dawudi ne ku abo abali mu Yerusaalemi omwoyo ogw'ekisa n'ogw'okwegayirira; era balitunuulira nze gwe baafumita, era balimukubira ebiwoobe ng'omuntu bw'akubira ebiwoobe omwana we omu yekka, era balimulumirwa omwoyo ng'omuntu bw'alumirwa omwana we omubereberye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bazzukulu ba Dawudi n'abantu abalala ab'omu Yerusaalemu ndibajjuza omwoyo omusaasizi n'ogw'okwegayirira. Balitunuulira oyo gwe baafumita, era balimukungubagira ng'abakungubagira omwana waabwe omu yekka. Balimukaabira nnyo, ng'abakaabira mutabani waabwe omuggulanda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndifuka ku nnyumba ya Dawudi ne ku abo abali mu Yerusaalemi omwoyo ogw'ekisa n'ogw'okwegayirira; era balitunuulira nze gwe baafumita: era balimukubira ebiwoobe ng'omuntu bw'akubira ebiwoobe omwana we omu yekka, era balimulumirwa omwoyo ng'omuntu bw'alumirwa omwana we omubereberye.