Zechariah 12:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Yeruzaalemu ŋŋenda kumukolamu ekikompe ekinaatamiiza abantu bonna abeetooloddewo. Kiribaawo mu kulumbibwa kwa Yuda ne mu kuzindibwa kwa Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Laba ŋŋenda okufuula Yerusaalemi ekikompe ekitagaza amawanga gonna ageetoolodde enjuuyi zonna. Yuda awamu ne Yerusaalemi birizingizibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nti, “Laba, nze ndifuula Yerusaalemi ekikompe ekitagaza amawanga gonna ageetoolodde enjuyi zonna, era Yuda wamu ne Yerusaalemi birizingizibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ndifuula Yerusaalemu ng'eggiraasi y'omwenge. Amawanga agakyetoolodde galiginywa, ne gatagatta ng'abatamiivu. Bwe galizingiza Yerusaalemu, ebibuga ebirala byonna eby'omu Buyudaaya nabyo biriba bizingiziddwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, nze ndifuula Yerusaalemi ekikompe eky'okuta gatta, eri amawanga gonna enjuyi zonna, era eriba n'eri Yuda bwe bazingiza Yerusaalemi.