Zechariah 12:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo ndifuula Yeruzaalemu ejjinja ezzito eririrema abantu okusitula; abalirisitula balyetuusaako ebinuubule. Amawanga gonna ag'ensi galyekuŋŋaanya okumulwanyisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ku lunaku olwo ndifuula Yerusaalemi ejjinja erizitowa eri amawanga gonna, ag’ensi agalikuŋŋaana okukizingiza. Abo bonna abaligezaako okuliggyawo, balyetusaako ebisago.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olulituuka ku lunaku luli ndifuula Yerusaalemi ejjinja erizitowa eri amawanga gonna; bonna abaliryebinika balifumitibwa nnyo ebiwundu; era amawanga gonna ag'ensi galikuŋŋaana okukirwanyisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ekiseera kirituuka, ne nfuula Yerusaalemu ng'ejjinja ezzito, buli ggwanga eririgezaako okulisitula, lirirumizibwa nnyo, era amawanga gonna ku nsi galyegatta okukirwanyisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka ku lunaku luli ndifuula Yerusaalemi ejjinja erizitowa eri amawanga gonna; bonna abaliryebinika balifumitibwa nnyo ebiwundu; era amawanga gonna ag'ensi galikuŋŋaana okukirwanyisa.